EMYAKA 27 EGY’EDDOGO, FFITINA, EMPALANA N’ENKULAAKULANA KU CBS FM *Meddie Nsereko lwe yakola obwa Asikaali alujjukira ng’olwabaddewo ejjo
Bya Musasi Waffe.
NGA Leediyo y’Obwakabaka bwa BUGANDA CBS FM, yawezezza emyaka 27, olugendo luno terubadde lwa museetwe nga bw’oyinza okulowooza. Leediyo eno ebadde entalo, eddogo, okwewalana ate obo oli awo n’okukulaakulanya abantu ba Beene. Mu miziziko gy’esanze, mwe muli lwe yaggalibwawo ku mpewo Oluvannyuma lw’obwegugungo obwa 2009, banyindo Ndaalo bamale bagaana Kabaka Ronnie Muwenda Mutebi, okugenda mu Ssaza lye erye Bugerere. Abaganda baalaba ennaku ng’eggaddwa. Abamu ku bakozi baalya enfuudu, okuwangaalira mu bwavu obuwunya n’okuwunya. MEDDIE NSEREKO AKOLA OBWA ASIKAALI; Embeera be yanyiga, mwe muli ne Meddie Nsereko Ssebuliba, ono yaddukirako ku kyeyo e Bungereza, gye yakolera Obwasikaali mu maka g’abagagga. Musajja wattu Nsereko eyalina ettama eryeru n’akamwenyumwenyu nga yenna takyafaananika ng’alinga gwe balyako emmere. Gyebuvuddeko musajja wattu Nsereko, kata akalimu kaggwewo nga Stephen Dunstan Busuulwa yeepikira ekifo kye, kyokka ng’ono baali baakamuggya ku TOP Radio eyali emusasula ebitole by’emmere. Kigambibwa maama FIINA, akulira abasamize mu ggwanga yayambako Nsereko mu lutalo lwe ne Busuulwa. Ye Ndugga Geoffrey ng’ono yali aweereza byamizannyo, yasalawo kukuba ekicuba ku Akaboozi ku Bbiri FM ne munne Stephen Birimunda Omwana Bbiri. Oluvannyuma, CBS yaddizibwa ku mpewo era abaali abakozi bangi ne bakomawo nga balaba ku Ndabakuki, mu biseera nga Hon. Kabakumba Matsiko ye Minisita w’Ebyamawulire. ABAVUDDEKO NGA BAKOLIMA, EDDOGO NE FFITINA Omugenzi Kato Lubwama Ono yalina empalana ne Abby Mukiibi Nkaaga, obuzibu bwa bano bwali busibuka ku kibiina kya Afri-Diamonds, kye baali bakoze nga bagasse ebibiina byabwe. Bano wadde baali bakola Kaliisoliiso bonna, naye nga bakoma kwogera ku Leediyo bwe bafuluma tebeebuuza. Kato yagamba Mukiibi yali alina olufugirizo n’olunkulu ate ng’alina n’olugambo, n’abakola naye bamutenda okwemanya. TAMALE MOSES AGENDA: Ono baali baali baamhukazaako OMWAANA MOOZE, yaweerezanga Byamizannyo ne Stephen Birimunda Omwana Bbiri, baali beekazaako lya The Villagers – Bannakyalo. MOOZE ne Abby Mukiibi, akulira ebiweerezebwa ku mpewo, baali tebazigatta, era Ono yagobanga Mooze ng’amamulanga kusiiwuuka mpisa ng’ayambala ebinu. Tamale baali kabwa na ngo ne Abby, nga kigambibwa Abby yali atiitiibya nyo “Luwala lwe” lu Baagala Peace Diane, era buli omu yaseka Mukiibi bwe yaluleeta nti lwe luddidde Kato Lubwama mu bigere. Wycliffe Luyombya naye yakituulamu wabula ne bimwokya kati yaddukira Bulaaya ng’amaze okutikkirwa diguli ku Ndejje University. Kati Kanaakulya Rajab yaakirimu ekya Kato Lubwama mu Kaliisoliiso. Ndugga Geoffrey, eyaweerezanga EBYEMIZANNYO kati ali bweru. Tamale baamulumiriza nti alina amabaluwa ge yawandiika ng’aginze amabaluwa gaabakulu e Mmengo. Ye Kayibanda, baamulumiriza okwetuminkiriza n’agenda mu State House, kyokka nga abakulu tebamanyi nti ateesa ebyokuggulawo CBS, ne bamugamba amanye waakoma. Olweyo lwa Katikkiro CP Mayiga, lwe lwayera Omumbejja Sheila Nvanungi, nadda ku Bukedde ne STV. Akyasembyeyo okuva ku CBS, ye Dikteta Mark. Okumanya olutalo lwa Kato ne Abby lwali lwa maanyi, lwalimu n’okwesindikira eddogo ekkambwe, wabula erya Abby lyasinza erya Kato amaanyi.
Endowooza yo, WhatsApp 0774602433