OKUTTA ABA BODA BODA,tunoonyerezza

Abavubuka Young Mulo ne Mukiga nga batuga owa Boda Boda

Okutta aba Boda BODA,enfo gyebazitemera sipeeya,kiki ekirina okukolebwa?

Bya Ronald Kisekka

Omulimu gwa Boda Boda gwegumu ku egyo abantu n’addala abavubuka gyebasinze okwettanira ensangi zino.Wabula kati gujjudde vvulugu atagambika era oli bw’omugamba okuguyingira ayinza okukutunuulira ekyamuli,ensonga eri nti gususseemu nnyo ababbi naddala abakubi b’obutayimbwa,obukuusa,okubinika emisolo egiyitiridde awamu n’ensonga endala nnyingi.

Enfo Boda gyezituukira

Akram Kasozi ng’ono y’akulira eby’obutebenkevu mu kibiina kya Boda Boda Industry,yategeezezza nti ssi mumativu n’engeri gov’t gy’ekuttemu ensonga zino “Gavumenti terina ky’esobola kulemererwa,abatta aba Boda Boda ebamanyi bulungi..”.Ekiseera kituuse wateekebwewo ekibinja nga ekya Munnamagye Elly Kayanja ekya ‘Wembley’ kikole ku babbi ba Boda Boda kibakukunuleyo awamu n’okubakuba kibooko.

Kasozi yamenyeeyo enfo okuli Ndeeba,Katwe,Bwaise ne Nalukolongo nga ebisinga okutinda sipeeya wa Boda Boda omubbe.

NDEEBA ky’ekimu ku bifo ebisinga okutunda sipeeya w’ebidduka nga kw’otadde n’eza Boda Boda,musangibwamu ne Garagi ez’enjawulo era nga Poliisi ebiseera ebisinga bw’eba ekola ebikwekweto ekitundu kino tekiyisaako maaso.Okusinziira Ku Kasozi,abantu bangi bettanira nnyo Sipeeya okuva mu bifo ebyo olw’ensonga nti bibeera bya ddondolo era nga bya Layisi.

Mu Ndeeba era ky’ekifo ky’ekimu mwe baakukunudde John Bosco Mugisha ateeberezebwa okutta omuvuzi wa Boda Boda e Mmengo,Kakeeka.

KATWE; Kino abangi baakikazaako kibuga kya Baddugavu olw’ensonga nti abantu b’eno mu kufumba omutwe tebatudde.Bw’oyita mu kitundu kino n’addala okuliraana Muganzirwazza Plaza,osangawo Piki Piki eza buli kika n’ezedda nga zi mmeeti,bano bazitimba ku mabbali g’ekkubo ng’obutiko olwo omuyise ne yeebuuza nti oba baziggyawa? Kino ky’ekimu ku bifo awasinga okutuukira Piki Piki enkadde eziriko bannyinizo abazitunda era nga ne ba Bbulooka baazo bangi nnyo.

Bano engeri gyebali abagezigezi,nnamba za Yingini bamanyi n’okuzikyusa nga bw’ogenda okugikebera osangako ndala

Nalukolongo : Ng’oggyeko Ndeeba ne Katwe,kino ky’ekimu ku bitundu ebisinga okutundibwamu zi Boda enzibe,kino nakyo kirimu abaziyiwa sipeeya ne bamutunda. 

BANOKODDEYO ABANENE 

Ibrahim Ssemujju nga y’omu ku bakulira ekibiina omwegattira aba Boda Boda KAMBA yayogedde kaati nti ekiwayi kya Abdalla Kitatta ekyakateebwa okuva ku mere e Luzira nti oba oli awo kirinamu omukono “Abasajja ba Kitatta lwaki bwebaali mu kkomera obuzzi bw’emisango mu Boda Boda bwali bukendedde,naye kati bukudde enkundi..” Yategeezezza nti n’ebitongole by’obyokwerinda okuli Poliisi ekikulirwa Martin Okoth Ochola n’omumyuka we Ssabiti Muzeeyi,ISO ekukulirwa Kaka Bagyenda ne UPDF ekulirwa Gen.Muhoozi nti bino bikola bampaane nga buli kimu kikola kusanyusa mukama waabwe Pulezidenti Museveni. 

Gyesinga okuttira aba Boda Boda.

Bino byebimu ku bitundu ebisinga okubeera eby’obulabe eri aba Boda Boda ; Makindye mu Kizungu,eno olwokuba enju zaayo za bikomera atye ng’obudde we buziba wabeera wakutte enzikiza nga ne bw’okuba enduulu teba akutaasa,Mmengo Balintuma,ppanya mungi nnyo mu kitundu kino nga kino kiwa abazigu ba Boda Boda omwagaanya okuzibba.

Kiki ekirina Okukolebwa?

Ssemujjua agamba nti ky’ekiseera aba Boda Boda beebereremu nga beewala okuva mu matumbi budde awamu n’obutatikka musaabaze asukka mu omu,agamba nti n’abakyala abayimirira ku makubo nga balungi nnhyo ebitagambika oluusi babeera babbi nga beetaaga okwegendereza.N’obuuma bu kalondoozi (GPS) Ssemujju agamba nti bwebumu ku bujja okutaasaako kukumalawo okuttibwa kw’Aba Boda Boda.

Eby’okulonda babikubyemu ebituli.

Ng’ekitongole kya KCCA kiri mu kubaga etteeka erinaateekawo okulond aobukulembeze bwa Boda Boda,abasing ku bavuzi babikubyemu ebituli nga bagamba nti buli mukulembeze alina obuwayi obw’enjawulo bw’awagira nga n’olwekyo era akalulu tekajja kubeera kaamazima na bwenkanya.

BODA YANGE BAAGIBBA – KANANURA

Deus Kannura ng’ono yali akulira Boda Boda mu divizoni y’e Kawempe agamba nti talyerabira lunaku lwe baamubba Boda Boda ye. “Nagula Bod Boda yange nga ngisuubiramu okujjangamu amatga g’abaana naye kyanzigwako bwe nnagiwa omuvuzi eyali aginvugira bwe baagimubbako e Kisasi okuliraana Mama FM.Abasajja 2 baamugamba nti abatwaleko e Kisasi awo nga ku ssaawa bbiri ez’ekiro,bwe baatuuka ku ,Mama fm ne bamukuba omuggo ku mugongo olwo ne bakuuliita ne Boda Boda ne beeryawo. Wabula Deus agamba nti ekyamuyamba owa Boda we tebaamutta.

Published by KISS MEDIA

📢 , We're the voice of the voiceless around the world.During this critical time when independent journalism is at crossroads,Kiss Media is committed to providing you with independent news around the globe that you can trust, to archive that dream,we therefore humbly ask for your financial support and contribution,as little as you can/ to Generate Password on our stories, deposit 1000 Ugshs. or 1$ via the following; Mobile Money No. : +256774602433 or Bank Account 3202889625

Leave a comment

Design a site like this with WordPress.com
Get started